Nga malayika Lusiferi ne kabaka
w’e Ttuulo, abaali mu kifo
eky’ekitiibwa mu ggulu, bwe baalyamu Katonda olukwe
olw’amalala gaabwe, nga baagala
okwegulumiza okusinga Katonda,
abantu bonna bayonoona mu ggulu era ne
baserengeta ku nsi eno, era
ne bategekerwa ekibonerezo mu geyena.
Naye, Katonda yennyini
yafuuka ssaddaaka olw’ekiweebwayo ky’ekibi mu buli
kusaba kw’okusinza era n’atuwa
okusonyiyibwa ebibi.
Okumala emyaka nga 1,500 okuva
ku mulembe gwa Musa okutuuka ku mulembe gwa Yesu, Katonda
yatukkiriza okufuna okusonyiyibwa
kw’ebibi okuyita mu
musaayi gwa ssaddaaka ogw’ensolo ensajja
n’enkazi ku lunaku lwa Ssabbiiti,
ne ku buli mbaga. Okuyita mu ndagaano
enkadde, Katonda atumanyisa
ssaddaaka n’okwagala kwa Katonda
Maama nga ye kituufu ky’endagaano
empya, era n’atulaga ssaddaaka ya
Kristo Ahnsahnghong, eyayiwa
omusaayi gwe ku musaalaba
ng’obujulizi obw’okwagala kwe eri abantu .
“N'omuntu omulongoofu anaayoolanga
evvu ly'ente, n'alitereka ebweru
w'olusiisira mu kifo ekirongoofu, era
linaakuumirwanga ekibiina
ky'abaana ba Isiraeri okuba
amazzi ag'okwawula; ekyo kye
kiweebwayo olw'ekibi.
Okubala 19:9
Era omuntu bw’anaayonoonanga
nga tamanyiridde, kale anaawangayo
embuzi enduusi etennamala mwaka gumu okuba ekiweebwayo
olw’ekibi
Okubala 15:27
Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti:
“Ebbaluwa ey'okugoba nnyammwe
eri ludda wa gye nnamugobya? oba
aliwa ku abo abammanja gwe
nnabaguza? Laba, olw'obutali
butuukirivu bwammwe kyemwava
mutundibwa, era okusobya
kwammwe kwe kwagobya
nnyammwe.
Isaaya 50:1
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy