Leero, abantu bangi okwetoloola ensi yonna basinza Katonda ku Ssande.
Naye olunaku Katonda lw’awa omukisa era n’atulagira okujjukira nga tulukuuma nga lutukuvu lwe lunaku lwa Ssabbiiti (Satade).
Obwakabaka obw’omu ggulu si kifo abantu we basobola okugenda nga bakkiriza bukkiriza Katonda ne bagenda mu kkanisa. Abo bokka abakwata olunaku lwa Ssabbiiti nga akabonero Katonda ke yawadde abantu be bokka be basobola okugenda mu bwakabaka obw’omu ggulu.
Nga abameganyi ab’ettutumu, bannabyabufuzi, n’abagagga bwe baafa, n’abantu bonna bafa era bamala emirembe gyonna mu ggulu oba mu geyena. Kino bwe tumala okukitegeera, tulina okugoberera ekkubo erigenda mu bwakabaka obw’omu ggulu Kristo Ahnsahnghong ne Katonda Maama lye batuyigirizza, kwe kugamba, olunaku lwa Ssabbiiti mu Baibuli.
“Jjukira olunaku olwa ssabbiiti, okulutukuzanga. Ennaku omukaaga okolanga emirimu gyo gyonna: naye olunaku olw'omusanvu ye ssabbiiti ya MUKAMA Katonda wo. . . . Mukama kyeyava aluwa omukisa olunaku olwa ssabbiiti, n'alutukuza.
Okuva 20:8–11
“Buli muntu aŋŋamba nti Mukama wange, Mukama wange,’ si yaliyingira mu bwakabaka obw'omu ggulu, wabula akola Kitange ali mu ggulu by'ayagala.
Matayo 7:21
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy