Kabaka Sulemaani yagamba nti okutya Katonda bwe buvunaanyizibwa bw'omuntu yenna, era Yesu yagamba nti etteeka erisinga obukulu kwe kwagala Katonda n'omutima gwaffe gwonna n 'ebirowoozo byaffe byonna.
Yateekawo etteeka ly 'endagaano empya, ng'agamba nti okwagala kwe kutuukiriza etteeka.
Katonda yakomererwa ku musalaba kubanga yali ayagala nnyo Omuntu.
Ensolo zonna ezaaweebwayo okusinziira ku mateeka g 'endagaano enkadde zikiikirira Katonda, nga ku nkomerero ziwa obujulirwa ku ngeri Kristo Ahnsahnghong ne Nnyaffe ow'omu Ggulu, abajja mu mulembe ogw 'Omwoyo Omutukuvu, gye bandinywezezza endagaano empya, omuli olunaku olwa Ssabbiiti n'Okuyitako, olw 'okulokola Omuntu.
Ekigambo ekyo we kikoma wano; byonna biwuliddwa: otyanga Katonda, okwatanga ebiragiro bye; kubanga ekyo bye byonna ebigwanira omuntu.
Omubuulizi 12:13
Abaana abato, muwulirenga abazadde bammwe mu Mukama waffe: kubanga kino kye kirungi.
"Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko" (lye tteeka ery'olubereberye eririmu okusuubiza),
"olyoke obeerenga bulungi, era owangaalenga ennaku nnyingi ku nsi."
Abaefeeso 6:1–3
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy