Ng’abantu bwe bafuna emirembe n’okubudaabudibwa
nga bayita mu maloboozi ga banyaabwe ge
baawulira mu lubuto, n’abaana ba Katonda
bajja kufuna emirembe mu mwoyo nga
bawulira eddoboozi lya Katonda Maama.
Emyaka nga 2,000 emabega, Yesu yekka yagamba
nti, “Omuntu yenna ajje gyendi afune amazzi
ag’obulamu,” naye mu mulembe gw’Omwoyo Omutukuvu,
Kristo Ahnsahnghong ne Katonda Nnyaffe
bonna wamu balangirira eddoboozi ly’obulokozi.
Kristo Ahnsahnghong yagamba nti, “Yoswa yagoberera Musa,
Erisa n’agoberera Eriya, Peetero n’agoberera Yesu,
nange ngoberera Maama.”
Kino kiri bwekityo kubanga abantu basobola okulokolebwa
nga bawulira eddoboozi lya Katonda Maama.
Era Omwoyo n’omugole boogera nti, “Jjangu!"
Naye awulira ayogere nti, “Jjangu!" Naye alina
ennyonta ajje; ayagala atwale amazzi ag’obulamu buwa.
Okubikkulirwa 22:17
“Nga Maama bwanasanyusa omwana we,
bwe ntyo bwe ndisanyusa mmwe;
ne musanyusibwa mu Yerusaalemi."
Isaaya 66:13
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy