Ng 'essaawa bwe zaatondebwa okutusobozesa okulaba ekiseera ekitalabika ekiyitawo, n'okuyitira mu Baibuli tusobola okulaba omusango ogw 'okugenda mu ggulu oba mu geyeena mu nsi ey'omwoyo etalabika.
Okuva bwe kiri nti Yesu, eyajja ng 'omusana, yajja mu ngeri ya Merukizeddeeki, abagoberezi be, ab'Ekkanisa ya Katonda, nabo bakwata Okuyitako kw 'endagaano empya n'okugoberera enjigiriza ze.
Emyaka enkumi bbiri egiyise, abantu baawulibwamu ebibiina bibiri - abo abakkiriza Yesu eyajja mu mubiri ng 'Omulokozi waabwe n' abo abatakkiriza, ne mu mulembe gw 'Omwoyo Omutukuvu, waliwo abakkiriza mu Kristo Ahnsahnghong ne Katonda Nnyaffe , abajja ng'Omwoyo n'Omugole, n'abo abatakkiriza.
Baibuli egamba nti omusango gwa Katonda gusaliddwa dda, okusinziira ku nzikiriza eyo.
Guno gwe musango kubanga omusana guzze mu nsi, abantu ne baagala enzikiza okukira omusana; kubanga ebikolwa byabwe byali bibi.
Kubanga buli muntu yenna akola ebitasaana akyawa omusana, so tajja eri omusana, ebikolwa bye bireme okunenyezebwa.
Naye akola amazima ajja eri omusana ebikolwa bye birabike nga byakolerwa mu Katonda.
Yokaana 3:19- 21
Ne kino kye kigambo kye twawulira ekyava mu ye era kye tubuulira mmwe, nga Katonda gwe musana, so mu ye ekizikiza temuli n'akatono.
1 Yokaana 1:5
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy