Abantu balowooza nti enkomerero y 'obulamu bwabwe ku nsi eno ye nkomerero ya buli kintu, naye Waliyo eggulu ne geyeena , era obulamu bwabwe mu nsi eyemitendera esatu bwe bunaaggwa, bonna bajja kudda mu nsi yaabwe eyasooka. Yesu yeetikka ebibi by 'abantu ku musaalaba n' ateekawo endagaano empya okusobola okutwala abaana be abaagalwa mu ggulu, so si mu geyeena, ekifo eky 'okubonerezebwa.
Ggeyeena, nga bwe kyogerwako mu Baibuli, kifo ekirimu okubonaabona kungi. Eyo ye nsonga lwaki Kristo Ahnsahnghong ne Katonda Nnyaffe bazze bamanyisa nate endagaano empya, nga bawa abantu omukisa okufuna ekitiibwa eky 'olubeerera mu bwakabaka obw' omu ggulu.
Era ng'abantu bwe baterekerwa okufa omulundi ogumu, oluvannyuma lw'okwo musango; . . . Abebbulaniya 9:27
N'omulyolyomi eyabalimbanga n'asuulibwa mu nnyanja ey'omuliro n'ekibiriiti, era omuli ensolo ne nnabi ow'obulimba; era banaabonyaabonyezebwanga emisana n'ekiro emirembe n'emirembe. . . . basalirwa omusango buli muntu ng'ebikolwa byabwe bwe byali. N'okufa n'Amagombe ne bisuulibwa mu nnyanja ey'omuliro. Eyo kwe kufa okw'okubiri, ennyanja ey'omuliro. Okubikkulirwa 20:10–14
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy